Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 344 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Nannyini motoka eyakola akabenje netta abantu asibiddwa lwakulemererwa kuleeta ddereeva we

September 12, 2023 · Mubiru Ali
Nannyini mmotoka nnamba UBM 489B eyakola akabenje ddekabusa nga 26 December, 2022 omwafiira abantu, avunaaniddwa gwakulemererwa kuleeta dereeva eyali avuga mmotoka ye.
Mukasa Godfrey nannyini mmotoka asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka etuula e Mpigi Fatuma Nabirye, n’asomebwa omusango gw’okulemererwa okuleeta ddereeva eyali avuga mmotoka ye nnamba UBM 489B eyakola akabenje nga 26 December, 2022.
Omusango agukkirizza era n’aweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyezi mukaaga oba okuwa omutango gwamitwalo 30. Wabula kino olumugudde mu matu asazeewo asasule omutango gwa mitwalo 30 yeewonye ekkomera.