Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 200 listening Simba FM Live

Nannyini Kkampuni ya Global Crypto Currency asindikiddwa e Kitalya

August 29, 2020 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Marion Mangeni yasindise akulira kkampuni ya ‘crypto currency’ Andrew Kaggwa Kulumba ku alimanda mu Kkomera e Kitalya nga amuvunaana emisango 65 okuli okufera abantu ssente.

Ono nga ye nnannyini Kkampuni ya Global Crypto Currency yaddamu okukwatibwa ku Kkooti e Mengo oluvannyuma lw’okuyimbulwa Omulamuzi Joel Wegoye nga agobye emisango egyabadde gimuvunaanibwa nga agamba nti tewabaddewo bajjulizi bamulumika ku misango gino.

Kigambibwa nti ono ngayita mu Kkampuni ye yafera abantu 65 ssente ezisoba mu bukadde lunaana (800) nga abagamba nti zaali zakukola amagoba agawereza ddala ebitundu 40 ku 100, ono emisango yagyegaanye nasindikibwa mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 10-Sep-2020.