Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 303 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Nankabirwa asekeredde ab’oludda oluwakanya Gavumenti

September 22, 2017 · Mubiru Ali

Nampala w’ababaka mu Palamenti ab’oludda lwa Gavumenti, Ruth Nankabirwa asekeredde ย ab’oludda oluwakanya Gavumenti abalowooza nti baawangudde NRM eggulo mu Palamenti okubalemesa okuleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Nankabirwa agamba nti ekya Palamenti okuwa omubaka Raphael Magyezi omwaganya okuleeta ekiteeso kino tekigenda kulemesebwa era akakasa nti mu ssabbiiti eggya kiteekwa buteekwa okuyitawo.

Avumiridde eky’ababaka ab’oludda oluwakanya Gavumenti okukyankalanya Palamenti nga bafuuwa ffirimbi wamu n’okwesiba obuwero obumyufu okutiisatiisa ababaka b’oludda lwa Gavumenti.