nange nkola mulimu gwa katonda – Bobi wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa ennyo nga aka Bobi Wine ayanukudde Abalokole abamulumba olw’oluyimba lwa ‘Tuliyambala engule’ n’agamba nti talina musango kuluyimba kuba naye akola mulimu gwa Katonda ‘’ wadde talina kabbo k’ateekawo bagoberezi kussaamu ssente ‘’Omulimu gwenkola ssi ggwange.Nange nkola mulimu gwa Katonda wadde ssirina kabbo kenteekawo (bagoberezi) basseemu ssente (nga bannaddiini) ’’ Bobi Wine bwe yayanukudde mu katambi akasasaanira ku mikutu gya ‘social media’.Kino kidiridde abamu ku balokole abakulembeddwa Pasita Martin Ssempa owa Makerere Community Church okulumba Bobi Wine olw’oluyimba lwa ‘’Tuliyambala engule’ olusasaaniea ku mikutu gy’empuliziganya ku misinde gy’oluyiira nga lulinga olulanga ebiribaawo ng’embeera y’ebyobufuzi eriwo mu Ggwanga ekyuuse.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
President Museveni atongozza eddwaliro