Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 147 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Nandala towolanga ku FDC ssente yogera amazima wazifuna otya – Kizza Besigye

August 7, 2023 · Mubiru Ali
Rtd Col. Dr. Kizza Besigye ayanukudde alipoota y’Akakiiko akatekebwawo okunoonyereza ku ssente zebayita ezekibi mu Forum for Democratic Change – FDC; “Waliwo mu alipoota wenalabye ngegamba nti Hon. Nathan Nandala – Mafabi yeyawola ekibiina ssente. Tebafaayo nakumubuuza yakiwola meka! Okwesika kwange kwatandikira ku ngeri ssente gyezatuukamu ewange ku ssaawa 4 ez’ekiro. Nandala yankubira nantegeeza nti kyetwayogeddeko kituuse, nemubuuza nti naye obudde bwa muggalo ssente bagenda kuzitambuza batya?
Yangamba nti teweralikirira, era wayitawo akaseera katono nnyo ddereeva we ngali yekka nandetera ekibokisi ekinene ekijudde ssente. Nagamba Nandala nti ssente zino okuzitereka ewange tekyali kirungi, naye nalina wengenda okuzitereka era netukiriziganya.
Bweyali azimpa yangamba nti azinteresa lwakuba atya okuziteeka ku akawunti ze kuba Uganda Revenue Authority (URA) yali emubanja ssente okuva mu makampuni ge ngejja kuzitwala nga kyandibadde kizibu okuzinunula.
Kyabulimba okugamba nti ssente zino obukadde 300 Nandala zeyanteresa nti zaali zaba agenti.”