Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 511 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Nandala Mafabi yerayiridde okugenda mu maaso n’enkungaana za Togikwatako

October 23, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Budadiri ey'obugwanjuba  ate nga ye Ssaabawandiisi w'ekibiina kya  FDC, oluvannyuma lw'okumala ennaku bbiri mu kaduukulu ka Police,   Nathan Nandala Mafabi yerayiridde okugenda mu maaso n'okukuba enkungaana mu balonzi be ku nsonga z'okuggya ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga.

Nandala nga yagombebwamu obwala e Mbale ku lwokutaano n'atwalibwa ku kitebe kya Police e Tororo era n'aggulwako emisango gy'okuleeta obutabanguko nga akulemberamu abantu okwekalakaasa nga bawakanya eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Sowedi Mansur ayogerera Police mu mu bitundu bya Elgon agamba nti Mafabi yateereddwa ku kakalu ka Police era nga yagguddwako emisango gy'okukuma omuliro mu bantu .