Namwandu wa Samson Kisekka afudde

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Mary Nanfuka  Kisekka nga ono y’abadde Namwandu w’eyaliko omumyuka wa pulezidenti Dr. Samson Kisekka afudde mu kiro ekikeesezza olwa leero. 

Mukyala Kisekka afiiridde mu ddwaliro e Nsambya ku myaka 92.

Ono abadde aludde nga ameggana n’obulwadde bwa Sukaali era nga asuubirwa okuziikibwa ku lw’okusatu olujja mumakagaabwe e Temangalo.

Share.

Leave A Reply