Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 104 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Namwandu wa Kasiwuukira yejjeerezeddwa

October 12, 2016 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Wilson Masalu Musene yejjerezza Sarah Nabikolo namwandu wa Kasiwukira nga ono ye musuubuzi omwatiikirivu mu ggwanga eyatirimbulwa gyebuvuddeko, Eriya Ssebunnya Bugembe eyakazibwako erya Kasiwuukira, ย nga yejjeerezeddwa emisango egyekuusa ku kutemula bba .

Abalala ababiri bwebadde bavunaanibwa okuli muganda we Sandrah Nakungu ne ofiisa wa Police , Ashraf Jaiden bo basingisiddwa emisango ne baweebwa ekiboknererezo .

Omulamuzi Wilson Masalu Musene agamba nti okusinziira ku bujulizi bwonna obuleeteddwa buluma bulungi Jeiden ne Nakungu okuba nga beekobaana okutemula Kasiwuukira ne bamutomera n’emmotoka eyamuttirawo mbulaga. Omulamuzi ategeezezza nti asazeewo okwejjeereza Sandrah Nabikolo oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta obujulizi obumuluba mu nsonga eno naye nga ate Ofiisa wa Police Jaiden Ashraf ne Nakkungu bbo obujulizi obuleeteddwa bubaluma bulungi .

Bano bombi baweereddwa ekibonerezo kya kukaligibwa mu nkomyo bakulunguleyo emyaka 20 mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’emisango okubakka mu vvi .