Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 248 listening Simba FM Live

Namuttikwa w’enkuba asengudde amaka 50 e Ntebe.

April 17, 2016 · Mubiru Ali

Namuttikwa w’enkuba afudemba enkya n’eggulo awalirizza amaka agali mu 50 agasangibwa e Kitubulu Ntebe okusenguka okwetegula  ekibabu ekiyinza okutwala obulamu bwabwe.

Abakoseddwa balaajana nti amayumba gaabwe gazzeemu enjatika ate abalala tebakyalina webayita kutuuka ku maka gaabwe.

Wabula abalala balabiddwako nga basenguka era ng’ebidduka bisomba ebintu byabwe. Abantu bano bagamba nti baagula ettaka lino nga tebamanyi nti liriba lya mutawaana mu biseera by’enkuba.