Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 251 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Namuttikwa w’enkuba asaanyizzaawo amaka 49 – Kasese

February 26, 2018 · Mubiru Ali

Abatuuze mu ggombolola y'e Nyakatonzi ekisangibwa mu Disitulikiti y'e Kasese basigadde neemagaza ng'ogwebusami era nga bakulukusa ga jjulujulu oluvannyuma lwa Namuttikkwa w'enkuba eyatandika olwokutaako lwa ssabbiiti ewedde n'akoma akawungeezi ka jjo okuleka ng'amayumba 49 gali ku ttaka.

Omwogezi w'ekitongole kya Uganda Red Cross, Irene Nakasiita agamba nti basindise ekibinja ky'abantu baabwe okuzuula obuzibu bw'abantu bano mwebatubidde mu kaseera kano era n'okubayamba babayambe mu mbeera eno etawoomya nakabululu.

Nakasiita ayongerako nti namuttikwa w'enkuba ono yasanyizzaawo n'ennimiro z'emmere eziwera ekiyinza okuviirako abantu bano okulumbibwa enjala gwomuwadde akatebe gyebujjako