Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 326 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Namugongo awuuma.

June 3, 2016 · Mubiru Ali

Namunkukumbo  w’abantu okuva mu nsi   yonna akungaanidde e Namugongo ku biggwa byabajulizi eky’abakatuliki n’abakulisitaayo okujjukira abajulizi ba Yuganda  abaafiirira eddiini yaabwe. 

Abajulizi baatulugunyizibwa era nebattibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga ii wakati wa 1885 ne 1887, 22 bakatuliki ate 23 bakulisitaayo.

Abalamazi basiyagguka enngendo  okuva e Bule ne Bweya mu mawanga ag’enjawulo omuli Congo, Tanzania, Nigeria n’amalala.

Kati giweze emyaka 52 ng’abajulizi bano balangiriddwa mubatuukirivu Pope John Paul VI mu 1964.

Wabula enteekateeka y’emikolo gyomulundi guno ekulembeddwamu aba Kiyinda Mityana Diosis ku luuyi lw’abakatoliki ate olw’abakulisitaayo ne lukulemberwamu obulabirizi bwe Namirembe.