Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 312 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Nampala wa NRM ajaguzza olwa opposition okulemererwa okuweza emikono

February 25, 2022 · Mubiru Ali
Nampala w’Ababaka ba Gavumenti Thomas Tayebwa avuddeyo okujjaganya olw’oludda oluvuganya Gavumenti okulemererwa okuweza emikono egiggya mu Minisita w’obutebenkevu Maj. Gen Jim Katugugu Muhwezi obwesige olwokulemererwa okuvaayo okukomya okutulugunya wamu n’okuwambibwa kwa Bannayuganda; “Mwebale nnyo Ababaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM olwobumu. Yadde bakuyeze, naye ku lunaku olusembayo basobodde kufuna mikono 88 okuggya mu munange Jim Muhwezi. Teri mubaka wa NRM noomu yataddeko mukono. Ababaka ku ludda oluvuganya abasoba mu 20 bagaanye okuteekako emikono.
Mu ntandikwa nabagambirawo nti ekiteeso tekyalina makulu kuba kyali kyakwonoona linnya lya musajja omukozi ne Gavument. Eyabadde ayagala okulaba obumu bw’ababaka ba NRM kati okirabye. “
Ekiwamba bantu n’okutulugunya Bannayuganda nsonga ya ggwanga oba yabibiina? Ensonga eyaleetebwa eyokuwamba n’okutulugunya Bannayuganda tekiriiwo mu Ggwanga?