Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 55 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Nambooze ayagala ebitabo bya DP bibalirirwe

June 5, 2017 · Mubiru Ali

Betty Nambooze Bakireke, omubaka mu Palamenti owa Munisipaali y’e Mukono ate nga ye amyuka omukulembeze w’ekibiina kya DP mu bitundu byomu masekkati agamba nti agenda kuwandiikira Ssaababalirizi w’ebitabo ng’amusaba yafeesi ye ebalirire ebitabi by’ekibiina kya DP olw ‘ezimu ku nsaasaanya z’ensimbi ezitategeerekeka .

Nambooze agamba nti Waliwo obukadde 700 ezaaweebwa ekibiina okuva eri Kampuni eyeebuuzibako ensonga ku kwongera okuzza ekibiina ku ntikko, ย ye kyagamba nti zaali tezeetaagisa.

Agamba nti tasobola kutuula butuuzi n’atunula nga ensimbi z’ekibiina zigenda mu maaso n’okubbibwa era nga bino abyogeredde mu lukiiko olw’abakulembeze b’ekibiina mu bitundu by’amasekkati nga lwayindidde ku ttabi lya DP ku kyalo Nakabago mu Munisipaali y’e Mukono