Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 449 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Nalukoola agenze ne Calculator kko ne geometry set mu Kkooti

May 15, 2025 · Mubiru Ali
Omubaka wa Kawempe North Elias Nalukoola Luyimbaazi olunaku olwaleero ayimiridde mu kaguli okulwanirira obuwanguzi bwe wabula asanze akaseera akazibu oluvannyuma lwa Bannamateeka be okwerabira okuwaayo eri Kkooti ebiwandiiko ebyomugaso mu kwanukula kwabwe nga muno mulimu ebiraga ebyava mu kalulu.
Abajulizi ba Nambi 9 olwaleero lwebaweddeyo nga mu bano mwemubadde Nathan Kyemba Muwanguzi avuddeyo nategeeza nti abenkambi ya NUP bavaayo nebamusuubiza okumuwa akakadde 1 akensimbi singa aggyayo obujulizi bwe ku ludda lwa Nambi nti wabula bano bamuwaako emitwalo 20 era ababanja emitwalo 80.
Kyemba ategeezezza omulamuzi Bernard Namanya nti kituufu aba NUP bamuwaako emitwalo 20.
Mu ngeri eyenjawulo Nalukoola azze ne Calculator ssaako Geometry set nga mwetegefu okwanukula ebibuuzo bya Bannamateeka ba Nambi.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe