Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 754 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Nalufenya aggaddwa

April 2, 2018 · Mubiru Ali

Akaduukulu ka Police e Nalufenya kaggaddwa era nga n’abasibe ababadde bakuumirwayo olw’okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka baggyiddwayo nebatwalibwa mu buduukulu bwa Police ez’enjawulo.

Omusasi wa Luboggola Simba mu kitundu ekyo Solomon Baleke atutegeezezza nti akaduukulu kano kabadde kakuumibwa butiribiri nga n’abaserikale ababadde bakakuumu nabo baggyiddwawo.

Kino kijjidde mu kiseera nga Ssaabaduumizi w’ekitongole kya Police omuggya, Okoth Ochola yalagidde akaduukulu kano kaggalwe olw’okuba nti kabadde kalinnyirira eddembe ly’obuntu omuli n’okubakuumira mu kaduukulu kano okusussa mu ssaawa 48 ez’essalira.

Nalufenya buli abadde amutwalibwamu abadde vaayo nga amwekokkola olw’okutulugunyizibwa era nga n’abamu ku baasibibwayo mwemuli ; Jamil Mukulu, Omusinga w’obusinga bwa Rwenzururu – Charles Wesley Mumbere, Meeya wa Kamwenge – Geoffrey Byamukama, ASP Kirumira n’abalala bangi.