Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 47 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Nalabye abawagizi ba NRM nga bangi – Bebe Cool

October 6, 2018 · Mubiru Ali
Bebe Cool avuddeyo ku mukutu ggwe ogwa Face book n’awandiika ku bya President Museveni okulambula mu Kampala;
#SILENTMAJORITY bagezeseddwa olwaleero era bwetunuulira obulungi ebifaananyi byoleka bulungi ekitiibwa, okwagala, obuguminkiriza, okutegeera, obukakkamu, okwetegeka okuwuliriza, n’Abazzukulu abalinze okuwaayo ebirowoozo byabwe eri Omutuuze omukulu Jajja w’eggwanga nga alambula ebitundu bya Kampala leero.
Nzikiriza bingi tebitambudde bulungi naye tekisaanye kugaana ggwe ng’omuntu okukola okusobola okubeera obulungi. Amagezi gempa abavubuka mulowooze ku bintu ebibazimba nga mukolera wamu ne Gavumenti wadde nga togiwagira mu by’obufuzi kubanga ddembe lyo okufuna mu Ggwanga lyo. Teri Gavumenti ejja kuteeka ssente mu nsawo yo nga tokola.
Gavumenti nebwenakyuuka ojja kukola n’abangi gwebanaaba balonze. Nabwekityo, kati tulina kukola na Jajja era temulimbibwa nti enkyuukakyuuka mu gavumenti enekyuusa embeera yo mu by’ensimbi nga ggwe tewekoleredde nnyo ng’omuntu wamu n’okuyiiya oba okubaza.
#TukoleNeJajja.