Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 155 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Nakawere afiiridde mu kidiba – Mpigi

January 22, 2017 · Mubiru Ali

Wabaddewo akasattiro ku mwalo gw’e Kaamaliba mu Disitulikiti y’e Mpigi, nakawere ow’emyezi ebiri gyokka bwagudde mu kidiba ekisimwamu omusenyu naafiiramu!

Omugenzi ategeerekese nga Annet Nabuuma myaka 26 era nga abadde mutuuze wa ku mwalo guno nga okugwamu abadde agenze kusena ku mazzi okukkakkana nga kimututte e zzirakumwa.

Bo abatuuze okufa kwa nakawere ono bakutadde ku bagagga abasima omusenyu mu kitundu kino abatafa ku bulamu bwa batuuze, so nga Gavumenti yali yawera okusima omusenyu mu Lwera nga yalagira n’okuziika ebinnya byonna ebisimwamu omusenyu.