Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 118 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Nakasongola efiirwa ebisolo byomunsiko 100 buli wiiki

September 30, 2016 · Mubiru Ali

Disitulikiti y’e Nakasongola efiirwa ebisolo byomunsiko ebiri mu kikumi buli wiiki olw’abantu ababitta ate nga kimenya mateeka

Avunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu Disitulikiti y’e Nakasongola, James Bond Kunobere agamba nti ebisolo omuli Goonya, Envubu, Engabi wamu n’eNjobe byebisinga okuyigganyizibwa mu magombolola omuli; Karungi, Kalongo, Nabiswera wamu ne Nakitoma

Kunobere ayongerako abantu bano abayigganya ebisolo bakoseza amafumu n’obutimba nebalumba ensolo zino mu nsiko ekiro nebazitta basobole okufuna ennyama . Ennyama eno etundibwa mu zi Disitulikiti nga ey’e Masindi ne Kampala era nga kigambibwa nti nakati mweri mu butale . Wabula Kunobere agamba nti  Disitulukiti eno ( Nakasongola) terina busobozi buteekako bakuumi okusobola okutaasa embeera eno .