Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 410 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Nabbambula w’omuliro ayokezza amayumba g’abaserikale e Katwe

August 24, 2017 · Mubiru Ali

Nabbambula w’omuliro akutte enkambi ya Police ey’e Katwe mu ggombolola y’e Makindye enkya ya leero n’ayokya ebisulo by’abaserikale obuyumba obuwerera ddala kkumi.ย 

Ayogerera ekitongole kya Police ekizikiza omuliro, ASP Agaba Collin agamba anti ekiviiriddeko omuliro guno nabuli kati tekinnategeerekeka wabula basindiseeyo abakugu okunoonyereza ku kiki ddala ekiviiriddeko omuliro.ย 

Agaba agamba nti basobodde okukozesa obwangu nebazikiza omuliro guno nebasobola okugutangira okukwata obuyumba obulala ate ne yafeesi za Police.ย 

Wabula ate ekyewuunyisa abaserikale ku Police eno bwebalabye bannamawulire ababadde bagenze okukwata amawulire gano, nabatanula okubakasukira amayinja okutangira emirimu gyabwe !