Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 119 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Mwewale okubba ebigezo – UNEB

October 12, 2018 · Mubiru Ali

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kitegeezezza nga bwe waliwo abasomesa ababadde batandise okutunda empapula ez’ebikyupuli nga balimbalimba ab’amasomero nti bye bigezo ebigenda okutuulwa abayizi ba S.4. Ssaabawandiisi w’ekitongole kino Dan Nokrach Odongo agamba nti bagezezaako okukwata abampembe bano ababadde bagezaako okuguza omukulu w’essomero ebigezo bino naye abamu nebasimattuka nebadduka olw’embeera gyebekengedde. Ono avumiridde ekikulwa kino era n’asaba amasomero okwewalira ddala okubba ebigezo.