Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 206 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Mwewale enkungaana obulwadde gyebuli – HE Museveni

November 12, 2020 · Mubiru Ali
Akwatidde National Resistance Movement – NRM bendera ku bwa Pulezidneti Yoweri Kaguta Museveniolunaku lw’eggulo yasisinkanye abakulembeze b’ekibiina mu Disitulikiti y’e Apac.
Agamba nti basazeewo obutakuba nkungaana nnene wadde okufuna ababawerekera mu makubo olwobutaagala kulwaza bantu mu kaseera kano aka #COVID-19.
Agamba nti NRM yasazeewo kusisinkana abakulembeze abatono olwo bbo bagende babunyise enjiri nnyumba ku nnyumba.
Yasuubizza okwogera ku mbalirira yokuliyirira ab’e Lango ente zaabwe okuweza obuwumbi 50 buli sub-region okuli ne Acholi ne Teso eyo ensonga eveewo lumu.
Yategeezezza nti Gavumenti egenda kuddaabiriza oluguudo lwa Lira – Kamdini, Rwenkunye-Apac-Lira-Puranga-Acholibur oluweza kiromita 191.
Ku kidyeri kya MV Kyoga-2, Gavumenti egenda kwongerako ekidyeri kya Zengebe-Namasale, lwo Olutindo lwa Acwa lumaliriziddwa.