Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 523 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Mwewale Bannabyabufuzi abalimba nti Gavumenti terina kyekoze – HE. Museveni

May 20, 2019 · Mubiru Ali

Olunaku lw’eggulo Pulezidenti Museveni yalumazeeko mu bitundu by’e Arua, gyeyatongolezza enguudo ezaddabiriziddwa okuli: Enyau, Idi Amin, Kamure Park Round-about ne Old Jago.

Oluvannyuma yayogeddeko eri abatuuze ababadde bakungaanidde ku kisaawe ky’e Boma nabakubiriza okukola emirimu egireeta ssente. Yakubirizza abatuuze okukuuma eddembe bewale okudda mu dduka dduka gwebalimu emabegako.

Yasuubiza nti Gavumenti yakukola n’enguudo endala okuli: Atiak-Adjumani-Koboko, Arua-Terego-Moyo ne Nebbi-Goli.

Yabasabye okwewala Bannabyabufuzi ababungeesa engambo nti Gavumenti terina kyekoze okuyamba omuntu wawansi okweyagalira mu nsi ye nga mulamu.