mwesonyiwe Rwanda mulowooze kukutunda ebyamaguzi munsi endala – Amelia

Minisita w’eby’obusuubuzi n’amakolero Amelia Kyambadde yavuddeyo nawa Abasuubuzi Bannayuganda amagezi obutesiba ku katale akamu ak’e Rwanda nga ate bafiirizibwa. Ono yategezeezza nti waliwo obutale obulala mu mawanga ag’omuliraano, Bannayuganda gyebayinza okutwala eby’amaguzi okusinga okubonoonekako ku nsalo ye Katuna gyebatamanyi ddi lweneggulwa. Ono yabawadde amagezi ebintu byabwe babitwaleko e Tanzania, Democratic Republic Of Congo.
Ono yagambye nti Yuganda yakola dda endagaano ne Gavumenti Ya DRC era nga Bannayuganda basobola bulungi okutundayo ebintu byabwe awatali abakuba ku mukono.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Lukululana esse basatu nga kuliko n’owemyaka 6.