Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 270 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

MWENNA ABAMBIKA NJAGALA BABAKWATE – PULEZIDENTI MUSEVENI

July 8, 2021 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nalagira abebyokwerinda okunoonya mangu bakwate abo bonna abasaasanya amawulire amafu nti yafa.
Pulezidenti Museveni agamba nti Social media ebadde ejjudde amawulire nga bamubika. Bwatyo ayagala abebyokwerinda bakwate oyo yenna eyasaasanya amawulire ago.
“Luli nagenze eyo e Bombo okutema evvuunike, naye ng’abantu bantunuulira nkaliriza nga bewuunya kuba social media yambika.”
Alagidde abebyokwerinda bamalewo ekizibu kino. “Netaaga njogereko nabebyokwerinda tutandike okubanoonya. Bwemuba muli mu Bulaaya, mwe tetwagala kumanya tubagamba nti mwakafa olumbe kuba mwonoona budde bw’abantu.”