Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 263 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

mwakozesezza ekifaananyi kyange mu bukyaamu – Msalame

February 7, 2019 · Mubiru Ali
Empaka Minisita Kiwanda Ssuubi Godrey zeyatongozza nga zigenderera okwoleka abakazi Mungu beyagemulira obutuuliro ng’ekyobulambuzi amakula Yuganda ky’erina zizeemu omukoosi omulala oluvannyuma lw’abategesi okukozesa ekifaananyi kya Munnamawulire munnansi wa Kenya Grace Msalame nga bayita abawala abaweza obutuuliro okutandika okwewandiisa nga tebasoose kumusaba lukusa.
Ono awawabidde abategesi wamu ne Gavumenti ya Yuganda nga ayagala emuliyirire akawumbi ka ssente za Kenya kamu bwebuwumbi bwa ssente za Yuganda 36 olw’okwonoona erinnya lye, ekitiibwa kye wamu ne brand ye. Msalame yegaanye okubeera n’enkolagana yonna n’abategesi, era nategeeza tawagira kikolwa wadde enteekateeka eno kuba kuba kutyoboola kitiibwa ky’abakyala.