Breaking
News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar News: Pulezidenti wEnsi ya Neyimbira Byange 2026 Zubeda Nalumansi Mukisa aka New Style akwasiddwa Piki Piki empya ttuku okuva mu Simba Automotives, News: Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 511 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

Mw. Ssembuya afudde yegayirira Gavumenti emuwe obuwumbi 18 azeewo bizineesi ze – Bobi Wine

January 15, 2022 · Mubiru Ali
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Neetabye mu kuziika Mzee Christopher Ssembuya ku kyalo Kikwayi, mu Disitulikiti y’e Buikwe eyafa ku lwokubiri lwa wiiki eno. Ono yomu ku Bannayuganda abasuubuzi abayitimuka ennyo, Muzeeyi Ssembuya yakulemberamu okutandikawo bbanka, okuzimba amakolero wamu n’ebyempuliziganya mu Yuganda.
Yatandikawo Sembule Group of Companies mu 1971 ne munne Buule, yatandikawo Sembule Steel Mills nga ye Kkampuni yo Munnayuganda eyasooka okukola ebintu ebya sitiiru ng’obutimba nemisumaali.
Yatandikawo ne Sembule Investment Bank (kati Bank of Africa Uganda); Pan World Insurance eyafuuka Lion Assurance ne Cable International Television (CIT) eyafuuka WBS TV. Yali CIT eyasooka okutuusa ku Bannayuganda emikutu gyensi yonna nga CNN ne DW.
Mu myaka gya 1980, Sembule Group yali ekola ebintu ebyenjawulo omuli ne leediyo nga Makula ezatutuusa ku tekinologiya wa FM mu Yuganda, bulb ezikekereza amasanyalaze n’ebitaala byo ku makubo, Terefayina ngayita mu Sembule Electronics Ltd. Wetwatuukira mu mwaka gwa 2000, erinnya Sembule lyali lyamaanyi nnyo mu kisaawe kyamakolero mu East Africa.
Ekyenaku, kkampuni za Muzeeyi Ssembuya zafunamu obuzibu bw’ensimbi mu gye 90 nga giggwako. Mu 2014, Sembule Steel Mills yatwalibwa oluvannyuma lwa Gavumenti obutamuyamba kumutaasa. Kikwasa enaku nti n’okutuusa olwaleero mu 2022 Muzeeyi Ssembuya wafiiridde abadde akyegayirira Gavumenti okumuyamba n’obuwumbi 18 asobole okuzzaawo bizineesi ze.”