Breaking
News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 555 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

MV Kalangala ekoma lwakutaano nga 25-02-2022 okukola

February 22, 2022 · Mubiru Ali
MV Kalangala, ngeno y’entambula eriwo okuva e Nakieogo mu Ntebe okudda e Lutoboka-Kalangala yakuyimiriza entambula zaayo okumala omwezi mulamba okutwalibwa okwekeneenyezebwa wamu n’okudaabirizibwa nga kino kyabuwaze kirina okukolebwa.
Okusinziira ku Sadala Musoke ng’ono ye Chief Executive Officer, wa Nation Oil Distributors Ltd (NODL), Kkampuni eyakwasibwa omulimu gw’okuddukanya MV Kalangala agamba nti bwenegenda e Kalangala ku lwokuna olweggulo yakudda ku lwokutaano nga 25-2-2022 ku makya olwo siyakuddayo okumala ebbanga kumpi lyamwezi mulamba.
Musoke ayongeddeko nti yakusooka kudaabirizibwa ba Yinginiya e Nakiwogo Pier okumala wiiki n’oluvannyuma etwalibwe ku Port Bell –Luzira dry docking site, okwekeneenyezebwa.
agamba nti mu kaseera nga MV Kalangala teriiwo bagenda kuba beyambisa MV NODL ngeno egyakusobola okukola engendo eziwerako buli lunaku okwawukanako ne MV Kalangala eva Entebe mu ttuntu olwo nedda enkeera.
MV NODL etwala abasaabaze abawerako, wabula teyetikka migugu mizito nga ne motoka kwozitadde, nga kino kitegeeza nti emotoka zijja kukozesa luguudo okutuuka e Masaka nga kiromita 170 olwo zeyunge ku Kalangala nga zikozesa MV Pearl oba MV Ssese, eziva e Bukakkata ku mwalo.