Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 222 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Muziimule ebiragiro byonna ebiweebwa ba Minisita ne ba RDC – Ssaabalamuzi

June 27, 2018 · Mubiru Ali

Ssaabalamuzi wa Uganda Bart Katureebe agambye abantu basaanye okwewala okugoberera ebiragiro byonna ebiweebwa ba Minisita wamu ne ba RDC kunsonga ezikwatagana neby’ekkooti kuba bebasigala mu buzibu kuba ebiba bisaliddwawo Kkooti biba birina okuteekebwa mu nkola.

Yagambye nti ebiragiro ebiweebwa ba Minisita ne ba RDC tebiba mu mateeka, bibeera byabwe nga bantu ebitalina kyebisobola kukyuusa mu mbuga z’amateeka. Bwatyo akubiriza abantu okufaayo ennyo okulaba nti bassa ebiragiro bya Kkooti mu nkola.

Yakyukidde abakozi ba Kkooti nagamba nti battatanye ekifaananyi kya Kkooti nebatuuka n’okukyayisa abantu Kkooti. Yagambye nti abantu bangi tebakyayagala nakugenda mu Kkooti olw’okuba nti baggwamu essuubi.