Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 214 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

muyimbule abawagizi ba people power – abalwanirizi b’eddembe

January 2, 2019 · Mubiru Ali

Bannabyabufuzi wamu n’abalwanirizi b’eddembe ab’enjawulo naddala abawagira People Power ekisinde ekyatandikibwawo omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine balumbye Poliisi y’e Katwe ne Kawempe nga baagala Poliisi eyimbule Bannabyabufuzi okuli Julius Katongole ne Moses Bigirwa nga bagamba nti bano bakuumiddwa mu kadduukulu ka Poliisi essaawa ezisoba mu 48. Bano bagamba abantu ba People power abasoba mu 16 bakwatiddwa ku bintu ebitategerekeka bakwatibwa Poliisi mu bitundu eby’enjawulo nga bagamba nti bakuma mu bantu omuliro.