Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 1,104 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Muyige okwetegekera temulinda Gavumenti – Omumyuuka wa Ssaabaminisita ow’okubiri Kiveijinja

April 18, 2020 · Mubiru Ali

Omumyuuka wa Ssaabaminisita ow’okubiri era Minisita owaguli naguno, Ali Kirunda Kiveijinja akubirizza Bannayuganda okutwala obuvunaanyizibwa obwokwetegekera wamu n’okweriisa okusinga okulindirira Gavumenti okubawa mu budde buno obwa ‘lockdown’ COVID-19.Okwogera bino yasinzidde ku byogerwa abantu nti tebanafuna mmere ya Gavumenti olw’okuba ebijanjalo byabula. Bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire, Kiveijinja yakubirizza abantu okuyiga okwetegekera kuba Gavumenti tesobola kubeera nammere emala bonna.Buli kizibu ekituukawo kireetawo obuzibu obulala, abantu balina okuyiga okwelabirira, temuteeka bulamu bwammwe mu mikono gy’abalala wetegekere, waliyo ebintu ebirala ebitonotono byemusobola okwekolera nemufuna ekyokulya.