Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 159 listening Simba FM Live
News

Muyige okwekolerera baleme kubajja ku mulamwa – Ssaabasajja Kabaka

August 3, 2025 · Mubiru Ali
Mbalamusizza mwenna,
Twebaza Katonda waffe atuwadde obulamu, obusobozi, nokutukuuma okutuuka leero nga tujjukira amatikkira aga 32.
Tusiima n’okwenyumiriza ennyo mu bantu ba Buganda abali mu byalo, mu bibuga, amasaza era n’abo abali e bweru wa Buganda ne Uganda, wakati mu bisomooza ebingi ebiriwo ensangi zino, mulwanye masajja okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo.
Tubeebaza bulijjo olw’okubeera abavumu n’okulemera ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka bwaffe ekiseera kyonna, tusaba nti temuddirira, era mwewale abo bonna abagufudde omuze okwerimbika mu mateeka agatali matuufu okugezaako okunafuya obwakabaka, kino tukirabye emirundi mingi.
Abakulembeze mu Buganda ku mitendera gyonna tubeebaza, mubadde banywevu ddala mu mbeera zonna ezitwolekedde. Mikwano gyaffe mu Uganda ne mu Nsi endala muwagidde emirimu gy’Obwakabaka tubeebaza nnyo olw’okukolagana naffe.
Akaseera ketuyingidde ak’ebyobufuzi gwe gumu ku miwatwa eminene abalabe ba Buganda mwebatera okuyitira, mbasaba mubeere bagumu era abantu ab’engeri eyo mubeekengere.
Tubasaba, nga bulijjo munyiikire okwekolera mmwe mwennyini okusinga okukaabirira n’okulindirira ababajja ku mulamwa nga babawa obunyebwa.
Mbakwasa Katonda n’ekiseera kyetulimu, amiina.
#ffemmwemmweffe
#Amatikkira32