Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 92 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Mutubuulire ssente gyemwaziggya bakulu – Hon. Ssemujju Nganda

July 17, 2023 · Mubiru Ali

Wabaluseewo obutakkaanya munda mu Kibiina kya Forum for Democratic Change, abakulembeze baakyo bwe betemyeemu ng’ekiwayi ekimu ekikulemberwa Pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat ekirala nga kikulemberwa omwogezi w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda ne Loodi mmeeya era Omumyuuka wa Pulezidenti owa Buganda Erias Lukwago.
Ekiwayi kya Ssemujju kirumiriza ekiwayi ekikulemberwa Pulezidenti w’ekibiina Amuriat ne Ssaabawandiisi, Nandala Mafaabi okufuna ssente ezitamanyiddwako mayitire nebazireeta mu kibiina kyokka bwe baabateeka ku nninga okunnyonnyola gyezaava nebeerema.
Ssemujju asinzidde mu lukungaana lwebakubye ku Nsambya Sharing Hall mu Kampala okwebuuza ku Bannakibiina ku kiki kyebaba bazaako naategeeza nti ekimala kimala tagenda kwenyigira mu kintu kyonna kigenda kutondawo bukulembeze bwefaananyirizaako obwa Mao ngekigendererwa kyakuwaayo kibiina wa Pulezidenti Museveni.