Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Mute Amir Kinene – DJC Alphonse

Omulamuzi wa Kkooti ejjulirwamu DCJ Alphonse Owiny Dollo alagidde ekitongole ky’amakomera okuyimbula Amir Kinene (mu kanzu enzirugavu) oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti ono akyakuumirwa e Luzira mu bukyaamu kuba yejeerezebwa emisango gy’obutemu n’obutujju mu 2017.
DCJ Alponse alagidde ateebwe oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okutegeeza nti talina misango gyamuvunaana.

Moses Ssentalo OC Luzira Upper Prison agamba nti yafuna remand warrant eya Kinene ku misango gy’okuyamba abayekera ba ADF, omusango gwebagamba nti yaguzza mu 2015. Wabula State Attorney Lillian Omara ategeezezza Kkooti nti emisango gino gyasuulibwa DPP navunaanibwa emirala egyamugibwako.
Omulamuzi alagidde Abamakomera okwatagana ne DPP balabe basabe ki bebakyalina ku alikanda nga bateebwa.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort