Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 186 listening Simba FM Live
News

Mutawa ddi omulambo g’omwana waffe – Bazadde ba Pte Sabiiti

May 18, 2023 · Mubiru Ali
Ab’oluganda lw’omusirikale wa UPDF eyakuba Minisita, Charles Engola amasasi agaamuttirawo oluvannyuma naye neyetta, Pte Wilson Sabiiti bakonkomadde n’entaana gyebasima okuziikamu omuntu waabwe kati wiiki nnamba.
Ab’oluganda lwa Sabiiti bagamba baali basuubira okuweebwa omubiri gw’omuntu waabwe oluvannyuma lw’okuziika Minisita Engola naye negyebuli eno tebagufunanga ate nga n’amaggye tegababuulira ddi lwegulibaweebwa.