MUTABANI WA DEBY AKWASIDDWA OBUYINZA MU CHAD

Pinterest LinkedIn Tumblr +
MUTABANI WA DEBY AKWASIDDWA OBUYINZA:
Gen. Mahamat Idriss Deby Itno 37, mutabani wabadde Pulezidenti wa Chad abadde yakaddamu okulondebwa Idriss Deby Itno eyafudde olunaku lw’eggulo yadidde kitaawe mu bigere nga Pulezidenti wa Chad mu kaseera kano.
Gen. Mahamat olunaku lw’eggulo yalangiriddwa nga omukulembeze owakaseera nga akulira Akakiiko k’amaggye akatereddwawo okugira nga katambuza emirimu gy’eggwanga. Kirangiriddwa nti kati yagenda okukola emirimu gya Pulezidenti wamu n’okubeera omuduumizi w’amaggye owokuntikko.
Share.

Leave A Reply