Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 511 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

mutabaazi atabudde okulonda

February 19, 2019 · Mubiru Ali

Wabaddewo akacankalano mu kulonda kw’abakulembeze ba zi Disitulikiti okwategekeddwa mu disitulikiti ye Moroto. Kino kyavudde ku abadde akulira ba Ssentebe ba Disituikiti zonna George Mutabaazi okulangirira nga bw’avudde mu lw’okaano lw’okwesimbawo omulundi omulala era nategeeza nti alekedde Ssentebe we Napak Joseph Lumonyang Ku kifo kino era tewali kulonda ekyatabudde abakulembeze ababadde bazze okulonda nga bagamba waliwo abeesimbyewo abalala.
Mutabaazi olwalangiridde nti avudde mu lwokaano kino kiggye abawagizi abaabadde bazze okulonda okuva mu mbeera era Poliisi n’amagye basanze akaseera akazibu okubakkakkanya nga balaga obutali bumativu olwa Mutabaazi okubayisaamu amaaso wabula oluvannyuma bakkanyizza ne batandika okulonda.