Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,679 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

MUSUMBA AGGYEEYO OMUSANGO GWEYALI AWAWABIDDE KADAGA

August 19, 2021 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’Omukulembeze wa Forum for Democratic Change – FDC Proscovia Salaamu Musumba aggyeyo omusango gweyali atadde mu Kkooti nga awakanya okulangirirwa kwa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga nga omuwanguzi w’ekifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kamuli.Kadaga yalangirirwa n’obululu 92,388 ate ye Musumba nafuna obululu 26,851.Mu mpaaba ye Musumba yagamba nti Kadaga yagulirira abalonzi saako n’okubba obululu ekyamuwanguza. Musumba era yagamba nti Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda kalemererwa okutegeka akalulu akamazima n’obwenkanya. Omusango yali yaguwaaba mu Kkooti Enkulu e Jinja nga gyagenze nategeeza nga omusango bwagugyeemu enta.