Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 670 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Musooka kusalawo wa Bob gyanaziikibwa okubawa omulambo – Poliisi

March 2, 2021 · Mubiru Ali
MUSOOKA KUSALAWO WA GYANAZIIKIBWA OKUBAMUWA:
Uganda Police Force eya Kampala Metropolitan Police evuddeyo ku bibaddewo mukusabira Munnamateeka Bob Kasango; “Omugenzi Bob Kasango mwana muzaale w’e Tororo era nga yawasa Tooro. Olwaleero mu kusabira omwoyo ggwe ku All Saints Cathedral, Nakasero, abavubuka okuva e Tororo bazze nebatwala omubiri gw’omugenzi boolekere e Tororo okumuziika.
Mukyala we yabadde ategese ono aziikibwe e Tooro, wabula ab’oluganda lwa Bob nebakalambira nti omwana waabwe alina kuziikibwa Tororo. Omubiri gw’omugenzi bwegutwaliddwa Mukyala we nakubira Poliisi etandise omuyiggo era nebayimiriza e Namugongo mu Kira Municipality. Mpaawo muntu akwatiddwa era omubiri gw’omugenzi gukwasiddwa aba A-Plus funeral service okutuusa aba famire bwebanakiriziganya kugyalina okuziikibwa. Kati gukumiibwa Poliisi.”