Breaking
News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar News: Pulezidenti wEnsi ya Neyimbira Byange 2026 Zubeda Nalumansi Mukisa aka New Style akwasiddwa Piki Piki empya ttuku okuva mu Simba Automotives, News: Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 283 listening Simba FM Live

Musonyiwe Mercy olwekyo kyeyakoze banage – Hon. Agasha

October 22, 2024 · Mubiru Ali
Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Mitooma Hon. Juliet Agasha Bashiisha avuddeyo olunaku olwaleero nategeeza Palamenti nti Omukyala Mercy Timbitwire Bashiisha eyakwatiddwa olwokukuba omusirikale wa Poliisi y’ebidduka oluyi bweyetonze olwekikola ekyo nategeeza nti ku lunaku kino lwekyatuukawo yalina ebizibu ebyali bimusumbuwa.
Ono ayongeddeko nti Mercy mulamu we nga mukyala wa Mwanyina, nti era olunaku lw’eggulo bweyatwaliddwa mu Kkooti ono bweyagenze okwogerako naye namutegeeza nti yetonda olwekyo kyeyakoze kuba kyabadde kyonoona erinnya lya famire. Agasha ategeezezza nti betegefu okugondera amateeka singa naddala anaaba abonerezeddwa era nayisibwa mu ngeri eyobwenkanya.
Bya David Turyatemba
#ffemmwemmweffe