Museveni yabatuma okusiba obupapula nebabakuba? – Hon. Rosemary

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Director wa Mobilization owa National Resistance Movement – NRM Hon. Rosemary Nansubuga Sseninde avuddeyo nalabula abavubuka wamu ne Bannayuganda abalala balekerawo okunenya Gavumenti naddala Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwobwavu bwebalimu.
Bino Sseninde yabyogeredde mu Katale e Bugoloobi bweyabadde asisinkanye abasuubuzi. “Mu Bayibuli oba Kulaani, emyaka mingi emabega nga ne Gavumenti ya NRM tenajja mu buyinza obwavu bwaliwo. Bano Bannabyabufuzi tebabalimbalimba kuba baagala mukirize. Ebiwandiikibwa ku ‘social media’ nebyogerwa Bannabyabufuzi kyetaaga mubisengejje bulungi kuba si buli kimu nti kituufu. Omuntu bwaba alina ssente nazonoona ngasiba akapapula, lwaki otandika okunenya Museveni olwobwavu bwoyitamu. Ekizibu yeggwe.”
Share.

Leave A Reply