Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 326 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Museveni ayongedde enkyukakyuka mu magye

January 13, 2017 · Mubiru Ali

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayongedde n’akola enkyukakyuka mu ggye ly’eggwanga oluvannyuma lw’okuba nga yasikuzza General Katumba Wamala, Maj. General David Muhoozi nga omuduumizi w’amagye.

Amawulire agavaayo galaga nti n’omwogezi w’eggye lya Yuganda Lt. Col.Paddy Ankunda naye aggyiddwa mu kifo kino nga amuddudde mu bigere ye Brig. Richard Karemera nga ono yaabadde amyuka akulira ekitongole kya CMI.

Big. Proscovia Nalweyiso asuumusiddwa okutuuka ku ddaala lya Maj.General nga ye mukyala asooso okutuuka ku ddaala lino mu mawanga agali mu buvanjuba bwa Africa.