Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 232 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Museveni ayimirizza okugaba ssente z’abazirwanako

March 27, 2017 · Mubiru Ali

Pulezidenti Museveni ayimirizza okusasula akasiimo eri abo abaazirwanako abali mu Disitulikiti y’ e Kyankwanzi ne Kiboga. 

Kino kizze oluvannyuma lw’abakulembeze b’ekibiina ky’abazirwanako ekya Kasejjere , Kigemuzi nga Nkrumah Civilian Veterans Association, okutegeeza Pulezidenti Museveni nti abantu b’akwasa ssente zaabwe tebazituusa era nga bino  baabimufuuyidde mu nsisinkano gyebaabaddemu naye e Ntebe mu maka g’obwa Pulezidenti.

Nickson Kabuye, omubaka wa Pulezidenti e Kiboga agamba nti Pulezidenti ayimirizza okugaba ssente zino okumala ssabbiiti bbiri kiyambeko okukola okunoonyereza ku nsonga eno .

Kabuye agamba nti alina okwemulugunya okuleeteddwa mu yaafeesi kungi nga kuliko n’obujulizi nga bulaga nti abamu ku ba ofiisa b’amagye b’ebeenyigidde mu kukumpanya ssente z’abantu bano nga n’abamu Ku baazirwako kumpi basalwako makkati ga ssente abantu abeefuula nti babayambye nnyo okuzifuna.