Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing · 273 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Museveni alabudde abalamuzi ku ntaputa y’amateeka

November 3, 2016 · Mubiru Ali

Pulezidenti Museveni alabudde abalamuzi okubeera abeegendereza ennyo mu ntaputa y’amateeka bwebaba basala emisango, kubanga  singa bawa ennamula enkyamu kiyinza okuleetawo obuvuyo mu bannansi .

Okwogera bino Pulezidenti Museveni abadde aggalawo olukungaana lw’abalamuzi abali mu mawanga agakola obuvanjuba bwa Africa olubadde luyindira ku Speke Resort  e Munyonyo ku Speke  Resort ekisangibwa ku nkingiizi z’ekibuga Kampala.

Omukulembeze w’eggwanga agamba nti amawanga agano agali mu buvajuba galina emikisa mingi nnyo ddala egy’okukulaakulana wabula giyinza okukommekkereza nga gifudde ttogge singa wabaawo obunafu ku bimu ku bikono ebikola Gavumenti .

Akukkulumidde abalamuzi wano mu ggwanga olw’okugutwala ng’omugano mu kuta abantu abavunaanibwa emisango gya naggomola ku kakalu ka kkooti .