Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 513 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Museveni alabudde abakuba ababaka ba NRM ku by’ekkomo ly’emyaka

October 17, 2017 · Mubiru Ali

Pulezidenti Museveni alabudde abantu bonna abakola obuvuyo ku babaka mu Palamenti aba NRM bwebaba bagenze okwebuuza ku bantu ku ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Pulezidenti agamba nti tagenda kukkiriza bikolwa bifaanana bwebityo era n'ajjukiza ababikola nti basaana bakimanye nti NRM y'ekulira akavuyo.

Omukulembeze okwogera bino mu bukambwe obw'ekitalo asinzidde ku mukolo gw'okwebaza ogwa Omubaka omukyala  mu Palamenti owa  Namutumba, Mariam Naigaga oguyindidde ku ssomero lya Kisiki College School erinsangibwa e Namutumba.