Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 142 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Museveni akyali mukwano ggwange – Mbabazi

October 13, 2018 · Mubiru Ali

Eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi wadde nga yava mu kibiina kya NRM naye akyali mukwano gwa Ssentebe wakyo era eyakitandikawo President Yoweri Kaguta Museveni.
Mbabazi yagambye nti yagambye nti ekimujja mu NRM kwekulaba nti abakulembeze baakyo baali batandise okuva ku mulamwa ogwakitandisaawo. Ono agamba akyayawukana n’endowooza z’ekibiina wadde nga talina buzibu na President Museveni.
Ono agamba nti yakola ne President Museveni emyaka egisoba mu 45 era bingi byebakola bombi naye olwaleero baawukana mu ndowooza z’ebyobufuzi wadde nga bamukwano. Mbabazi yasuulibwa ku bwa Ssaabaminisita mu September 2014 nasikizibwa mukwano ggwe ennyo okuva mu buto Ruhankana Rugunda.
Bino byonna yabyogedde olunaku lw’eggulo bweyabadde ayogerako eri abakungubazi mukusabira omwoyo gw’omugenzi Elijah Paul Bakebwa mukulu we nga ono yali mpagi luwaga mu kibiina kya UPC mu bitundu by’e Kigezi.

Image may contain: 2 people, people standing and suit