Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 263 listening Simba FM Live

Museveni akole Gavumenti eyaawamu – Ken Lukyamuzi

May 9, 2016 · Mubiru Ali

Agenda okuwummula emirimu gy’ obubaka bwa Palamenti owa Lubaga eyaamaserengeta John Ken Lukyamuzi agamba nti Pulezidenti Museveni asaanye akole Gavumenti eyaawamu nga mulimu Dr. Kizza Besigye kubanga yawangula akalulu era alina abantu bangi abamukkiririzaamu .

Lukyamuzi okwogera bino abadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Palamenti akawungeezi ka leero naakakasa nti Besigye muntu wa bantu .

Wabula ye omubaka akiikirira abantu be Budadiri Nathan Nandala Mafabi owa FDCย  agamba nti bo bagenda kuteekawo Gavumenti ya bantu enaakola ku bizibu byabwe .