Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 369 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
Sports

Murushid Jjuuko awumudde ogwa ttiimu y’eggwanga

January 13, 2022 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Central Defender ku ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Murushid Jjuuko avuddeyo nalangirira nga bwawumudde omupiira ku ttiimu y’Eggwanga. Mu bbaluwa ye gyawandiikidde ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) agamba nti asazeewo awummule omupiira ku ttiimu y’eggwanga wabula yenyumiriza nnyo mu mukisa ogumuweereddwa okuzannyira ttiimu y’eggwanga era kyamuyamba okutuukiriza ekirooto kye.
Ayongeddeko nti eggwanga alizannyidde ekimala era kekaseera awummule. Agamba nti tekibadde kyangu kusalawo kuwummula naye yebazizza nnyo famire ye n’abakulira omupiira mu ggwanga olw’obuwagizi bwebamuwadde.
Agamba nti ayagaliza Uganda Cranes birungi byokka era kati kayemalire ku kkiraabu ye eya Express Football Club.