Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 295 listening Simba FM Live

Munyongereyo enaku 30 njogere n’abajulizi – Muwaabi wa Gavumenti

July 19, 2022 · Mubiru Ali
Omuwaabi wa Gavumenti ali mu musango gw’Ababaka ababiri Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewanyana avuddeyo nategeeza Kkooti nga bwasaba bongozeeyo okuwulira emisango gyobutujju egibavunaanibwa nga agamba nti bakyalemereddwa okusisinkana abajulizi mu misango gino olwobutabeera nabikozesebwa nga tebabifuna olwokuba bino byaliwo nga Eggwanga lyeteekeratekera kusoma mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2022/2023.
Bannamateeka Babaka bano nga bakulembeddwamu Loodi Meeya Erias Lukwago bavuddeyo kino nebakiwakanya. International Crime Division Kkooti Enkulu oluvannyuma egobye okusaba kw’omuwaabi wa Gavumenti okwokubongera enaku 30 nti basobole okwogera nabajulizi.