Munyagwa eyo nsaalwa yabutaba namulimu – Hon. Mpuuga

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayanukula eyali omubaka wa Kawempe South Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Hon. Munyagwa Mubaraka eyavuddeyo nategeeza nti NUP terina kigendererwa nankola nnungamu eyinza kuwangula Gen. Museveni.
Ono yayongeddeko nti NUP terina kyegamba bantu wabula ekkoppa Dr. Kizza Besigye nti era balinga omuntu asobeddwa eka ne mu kibira.
Hon. Mpuuga; “Ono yetaaga okuwabulwa nti NUP yamumalako omulimu kati asobeddwa eka ne mukibira! Omuntu atasobola kufulumya alipoota yonna mu myaka ebiri n’ekitundu bweyali Ssentebe wa COSASE abeera alina okusirika ku lw’obulungi bwe.”
Share.

Leave A Reply