Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 136 listening Simba FM Live
News

Muntemeko emikono bwekiba nti kyekinabawaliriza okuntwala mu Ddwaliro – Eddie Mutwe

May 20, 2025 · Mubiru Ali

Edward Rogers Ssebuufu aka Eddie Mutwe. aleeteddwa mu Kkooti e Masaka okuwulira emisango egibavunaanibwa. Ono bwaweereddwa omukisa okwogera asabye Omulamuzi okumusalira omusango amanye nti atandise ku kibonerezo kye amanye lwekiggwayo kuba tebagenda kumyimbula oba si ekyo bamutemeko emikono bwekiba nga kyekinasobozesa abamakomera okumutwala mu Ddwaliro. Ono agamba nti yadde Kkooti yalagira atwalibwe afune obujanjabi naye tabufunanga wabula nga amira painkillers 12 olunaku okukkanya ku bulumi wabula nga tezirina kyezikolawo.

#ffemmwemmweffe